Bya Sam Ssebuliba
Nga obubbi bw’ekilime kya Vanilla bweyongera buli lukya, minisitule y’ebyobulimi eyisizza amateeka amakkakali ku by’okukungula n’okutunda ekirime kino.
Mu lukiiko lw’abalimi ba Vanilla okuva mu bitundu 30 gyebasinga okumulima, kyasaliddwawo nti abalimi bonna bawandiisibwe nga era teri kuddamu kukungula vanilla muto.
Nga ayogerako eri abalimi abaakulembeddwamu Agga sekalaala, minisita w’ebyobulimi n’obulunzi Vincent Bamulangaki Ssempijja y’ategezezza nga bwebali mu nteekateeka ezisembayo okufulumya etteeka erinalungamya ku kukungula n’okutunda Vanilla.
Mu mwaka gwa 2003 ebbeeyi ya Vanilla yalinya nga buli kiro yatuuka ku mitwalo 150,000 .