Bya Ruth Andera
Munnakibiina kya NRM era omuwagizi weyali ssabaminisita we gwanga John P Amama Mbabazi ajjeeyo omusango gweyali yawaaba ngawakanya abekibiina kya NRM Yoweri Museveni okubakwatira bendera kubwa presidenti mu kulonda okwaggwa, songa ayolkedde okukoona ku kkomo lye myaka.
Mu bbaluwa gyeyawansdiise nga November 3 Dr Benjamin Alipanga okuyita mu banamteeka aba Muwema and Company Advocates yategezezza nti ensonga zeyali yemulugunyako, tezikyalimu nsa.
Mu mwakagwa 2015, Alipanga yawabira NRM, akakiiko akebyokulonda ne ssbawolereza wa gavumenti ngmulonzi era omutuuze mu Town Council ye Paidha mu district ye Zombo.
Ono yali awakanya ekyokuwnadiisa presidenti Museveni nate okuvuganya songa, akuze era yali wakuweza emyaka 75 ejirambikiddwa mu ssemateeka okukomako okukulembera ngakyali mu ntebe.
Ono okujjayo omusango gwe kyadirira omumyuka wa ssabalamuzi nga October 11, Alfonse Owiny-Dollo okulagira bano bakanye obanga ddala omusango guno ogwakandairira nti gukyetagisa okuwlirwa.
Bino webijidde ngakyogerwako mu gwanga lye bbago eryayanjulwa okukola ennongosererza mu ssemateeka ku nnyingo 102/b eyateeka ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga.
