Skip to content Skip to footer

Okukebera enkalala kuggw aleero

File Photo: Abantu nga basimbye lini okulonda
File Photo: Abantu nga basimbye lini okulonda

Nga ebula ssaawa mbale okutimba enkalala z’abalonzi kukomekkerezebwe, akakiiko k’ebyokulonda kalabudde nti teri kwongezayo nsalesale waleero.

Okuva nga  July 22nd akakiiko kano kabadde katimba enkalala zino nga abalonzi bekebera amanya gaabwe okusobola okulongoosa enkalala zino.

Omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Jotham Taremwa agamba bakoze okulanga okumala kale nga teri kwongezaawo nsalesale.

Taremwa agamba kati bakubakana nekawefube w’okutimba enkalala z’abasaana okugibwa oba okuteekebwa ku nkalala zino.

Leave a comment

0.0/5