Poliisi ye Pajure mu disitulikiti ye Pader ekubye omukka ogubalagala mu bawagizi b’eyali ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye.
Bino byonna okubaawo nga Besigye ayolekera mu kifo w’abadde alina okukuba olukungaana ekitasobose.
Akulira abakyala mu FDC Ingrid Turinawe ategeezezza nga Besigye bweyategezezza poliisi ku ntekateka ze era bewunyizza poliisi okubatataganya.
Besigye ali mu kutalaaga bukiika kkono bw’eggwanga nga bwanonya akalulu okukwatirwa ekibiina kye bendera mu kulonda kwa pulezidenti mu kulonda kw’omwaka ogujja.