
Ab’omukago ogugatta ebibiina ebivuganya gavumenti ogwa Democratic Alliance baganye okuwandiisa ekisinde kya loodi meeya Erias Lukwago ekya plaform for truth and Justice nga kino kyekutula ku kibiina kya DP.
Ssenkaggale w’ekibiina kya DP nga naye memba mu mukago guno agamba ebibiina by’obufuzi musanvu byonna wamu n’ebisinde 2 ebyaliwo okusooka nga Lukwago tanatandikawo kikye byebamanyi mu mukago guno.
Mao agamba baataddewo akakiiko akakulemberwa eyali Katikiro wa Buganda Mulwanyumuli Ssemowogerere okutunula mu kwemulugunya kw’abali mu kisinde kya Lukwago.