Ebyobusuubuzi
Etteeka ku butale lyetaaga okwekenneenya
Bya Ndaye Moses ne Sam Ssebuliba
Ebibiina byobwanakyewa biweze nga bwebigenda okukunga abalimi, okubanja etteeka lyobutale lyebatuuma Market Act liddemu okwekenneyzebwa.
Okusinziira ku akulira ekitongole kya Share an opportunity Uganda, Florence Ssuubi waliwo obwetaavu okukola ennongosereza mu tteeka lino kubanga abalimi bakolera mu kufiirwa.
Agamba nti abaimi tebalina nkwatagana buterevu nabaguzi, kalenga waliwo ba kayungirizi ababtusiza makungula gaabwe eri obutale nebamalirizza nga bababbye.
Ate abalimi naddala mu byalo basabiddwa okwettanira interenet nebyuma bi kalimagezi okweranga, okusoma okumanya ebikwata ku byobulimi nebirala, ebianabatumbula.
Bino webijidde nga gavumenti yatandika kawefube okukunga abalimi okwettanira technologiya.
Okusinziira ku Alexander Baziraki, accounts manager nekitongole kya Rok telecom, abalimi obuteyambisa internet kibakumidde emabega, kalenga balina okukyuka nembeera.