Ebyobulamu
Okukola dduyiro kikulu nnyo
Bya Ivan Ssenabulya
Commissioner avunznyizibwa ku ndwadde zitasigibwa butereevu okuva ku muntu okudda ku muntu omyulala, mu ministry yebyobulamu Dr Gerald Mutungi alaze obukulu bwabantu okukolanga dduyiro, okwewal ezimu ku ndwadde zino.
Bino abyogeredde ku ssomero lya British School of Kampala oluvanyuma lwemisinde gyebabaddemu, okusonda ensimbi okuddukirira amalwaliro mu kitundu kye Muyenga, mu njegoyego za Kampala.
Kati omukulu we ssomero lino Margret Ndynabo agambye nti amalwlairo baamaze dda okugalondobamu.
Ategezezza nga bwebalina essuubi mu biseera ebirgya mu maaso kubanga nabayizi betabye mu kawefube ono.