Bya Gertrude Mutyaba
Minister omubeezi avunaanyizibwa ku bavubuka n’abaana Owek. Florence Nakiwala Kiyingi agguddewo ekizimbe abavubuka abalina obulwadde bwa mukenenya webagenda okutendekebwanga eby’emikono okubazaamu amaanyi.
Nakiwala asinzidde ku Uganda Cares e Masaka mu kujaguza olunaku lwa mukenenya nagamba nti abavubuka bangi balemererwa okuguminkiriza nebeegatta mu bikolwa eby’omukwano, nebalwala nebagwamu ne ssuubi.
Akulira Uganda Cares mu bendo-bendo lya Masaka Dr Suleiman Kawooya agambye nti akawuka ka mukenenya mu district ye Masaka keyongedde nnyo okuva ku bitundu 7% okudda 10.7% mu bbanga eryomwaka ogumu.
Dr Kawooya akubye omulanga nti waandibaddewo ekisakaate ky’abasajja okubasomesa ku butya bwebayinza okwekomako ku bwenzi.