Skip to content Skip to footer

Taata ayocezza omwana engalo olw’okulya omutwe gwe ogw’ekyenyanja

Bya Abubaker Kirunda

Poliisi mu district ye Kamuli eriko taata gwegalidde, nga kigambibwa nti yakitte muwala we namwokya engalo olwokulya omutwe gwengege, atenga gwabadde gulina kuba gugwe.

Omukwate ye Ronald Muwanika nga mutuuze ku kyalo Busota nga yavudde bweyakomyewo okuva okuziika, nasanga nga muwala we yejuluidde ekyeggulo nalya nomutwe gwekyennyanja.

Omuwala ategerekeseeko erya Peace atemera mu myaka 6

Kati omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Michael Kasadha ategezeza nti Muwanika yabadde atambudde ne mukyala we, kwekukomawo ngomwana yejulidde, nebamukuba nebamwokya engalo.

Kigambibwa nti omwana okulya emmere yasoose kulinda abakulu nga tebakomawo.

Poliisi etegezeza ngokunonyereza bwekugenda mu maaso, ngomwana yye ali mu ddwaliro ajanjabibwa.

Leave a comment

0.0/5