Skip to content Skip to footer

Basatu bakwatiddwa olw’okwekobaana okutemula omuntu

Bya Gertrude Mutyaba

Poliisi e Masaka eriko abantu 3 beekutte olwokwagala okutta omuntu.

Abakwate kuliko Bunya Achilleo owemyaka 28, Robert Kayondo owa 32, ne Lawrence Kakeeto owa 26 nga bano kigambibwa nti baagula omusajja amanyiddwa nga John Bosco Musoke atemule Ronald Matovu ow’emyaka 25 oluvannyuma
lw’okumuteebereza okuganza muka Bunya, Rose Namata.

Abakwate bonna batuuze ku kyalo Bulemba mu gombolola ye Buwunga mu district ye Masaka.

Akulira poliisi ye Masaka Jacob Kule anenyezza abatuuze b’eBulemba okwekobaana n’abamanyi b’amateeka okutemula abantu kyokka nebanemya poliisi obutabafaako okubakuuma.

Yye akulira okunonyereza ku buzzi bw’emisango ku police ye Lukaya Peter Mbabazi agamba nti yatemezebwako John Bosco Musoke eyali aguliddwa okutta kyokka naye neyenyigiramu asobole okukwata omusajja eyali emabega w’obutemu buno.

Leave a comment

0.0/5