Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi mu district ye Kapchorwa eriko abasjja 2 begalidde, nga kigambibwa nti baakidde bakyala baabwe nebabakajjula mu mbugo, ngempisa yaba- Sebei bweri.
Abakwate kuliko Chemongesi Edrisa owemyaka 32 ne Ssiwa Bernard owa 44 nga bombi batuuze ku kyalo Kapusimba mu gombolola eno.
Bwabadde ayogererako naffe, omwogezi wa ploliisi mu Sebei Rogers Taitika, ategezeza ngabakulembeze ku kyualo bwebekubidde, enduulu ku poliisi era nabo nebasitukiramu.
Kati agambye nti omuyiggo gugenda mu maaso ku bakyala baabwe, kuba tebamanyi wa gyebali, atenga tebalabyeko mu biseera byokukwata abasajja bano.
Abawala nabakazi abasoba mu bukadde 200 mu Africa baali bakekejjuddwako mu mbugo, okusinziira ku kitongole kyebyobulamu mu nsi yonna WHO.
Wabula kino tekikoma kuba kyabulabe eri obulamau bwabwe, nokusinziira ku bakugu, naye kimenya mateeka ga Uganda ate nensi awamu.