Bya Shamim Nateebwa
Nga tusemberedde ennaku enkulu, abagoba ba bus bajuzikidwa obutakemebwa kuvuga ndiima okusobola okudda okukima abasabaze abalala.
Okulabuula kuno kukoledwa ssentebe wekibiina ekigatta ba ddereva ba bbaasi mu gwanga ekya United Bus drivers Association, Yunus Kiggundu ngategezezza nga abamu ku basabaze bwebatandiise dda okusula mu ppaaka ezenjawulo olwa bbaasi okubeera entono okusinziira ku bungi bwabantu abatambula atenga Bus bwezigenda tezikomawo.
Ono mungeri yeemu akubirizza bananyini ppaaka okufaayo ku byokwerinda byabasabaaze abasula mu ppaaka zabwe.
Kyokka ebisaale bibadde tebinakalama mu ppaaka, za bus okuli eya Namayuba, Kisenyi nendala.