Bya Rita Kemigisa.
Banna- uganda basabiddwa okufaayo okusoma amateeka g’ebyetaka gonna okusobola okwegobako banakigwanyizi abakozesa olukujukujju okubba etaka lyabwe.
Kuno okusaba kukoleddwa Emilian Kayaima ayogerera Police ya uganda, nga ono aliko n’akatabo keyawandiika nga alambika ebikwata ku bwananyizi kutaka.
Kayima ono agamba nti banna-uganda bangi bagobedwa kutaka nebafuuka emomboze mungeri etali nambulukufu, wabula nga kino kyona kivudde kubutamanya mateeka.
Kati ono ayagala buli munna-uganda atwale akadde okumanya amateeka ky’egagamba.