Amawulire

Abasomesa be Kyambogo bediimye

Ali Mivule

October 29th, 2013

No comments

Kyambogo

Abasomesa b’ettendekero lye Kyambogo batandise akeediimo kaabwe.

Kiddiridde eyali akulira ettendekero lino Prof Isaiah Ndiege okudda ku ttendekero lino, ekintu kyebaludde nga bawakanya

Bano bagamba nti Prof eno adibaze enzirukanya y’ettendekero era nga tebasobola kukolagana naye.

Abasomesa bano olulabye Ndiege, nebatandika okuggala ofiisi zaabwe era mu kadde kano teri kusomesa.

Omwogezi w’ettendekero lino, Lawrence Madete agamba nti bbo kyebasaba kwekuteesa wakati wa Ndiege n’abasomesa okulaba nti embeera edda mu nteeko.

Yyo poliisi eyiiriddwa okwetoloola ettendekero lino ne munda okulaba ti tewabaawo kavuyo konna.