Amawulire
Omwana attiddwa bakadde be, n’omukadde alidde ekisaanyi n’afa
Mu district ye Kamuli obutabanguko mu maka bubizadde oluvanyuma lw’omwana okufiira mu kavuyo nyina bw’abadde nga balwana ne bba.
Omwana ono ow’emyezi 11 yafiiridde mu kavuyo kano oluvanyuma lwa maama we okulumba bba nebalwana nga amulanga kutunda birime ne yezza sente zonna.
Sentebe w’ekyalo Wilberforce Kategere agamba bakwataganye ne poliisi okukola ku nsonga eno wabula nalabula abazadde okwewala obutabanguko mu maka .
Mu ngeri yeemu ku kyaalo Namasagali e Kamuli, omukadde ow’emyaka 75 afudde oluvanyuma lw’okulya enva nga zirimu ekisaanyi.
Ekisaanyi kino kibadde mu doodo gwebaalidde ekyeggulo.
Abantu abalala bataano mu maka gano bawereddwa ebitanda nga bali mu mbeera mbi oluvanyuma lw’okulya doodo yoomu.