Bya Samuel Ssebuliba.
Okunonyereza okwakakolebwa kwakakasiza nga Uganda bweyakutte ekifo kya 151 mukulya enguzu bwogeregeranya ku mawanga 175 aganoyerezebwako mu mwaka 2017 mu alipoota eya Corruption Perceptions Index eyakolebwa aba Transparency International.
Kati kino kyandikakasa nga Uganda bweyongedde okusenserwa enguzi.
Okunonyereza okwakolebwa ekibiina ky’amawanga amagatte , kwalaga nga okwebalama okuwa omusolo bwekufiiriza Uganda akeesedde kamu n’obuwumbi abiri mu mukaaga buli mwaka.
Ssentebe wa Transparency international John Mary Odoi agamba kino kyekiviirideko abantu obutafuna buwereza okuli enguudo amalwaliro, kko n’ebirara.
Bweyabadde ayogerera ku lunaku olwakomekerezza ssabiiti y’okulwanyisa enguzi, President yagambye nti kati enkola gyagenda okuleeta yakuwamba bintu byabo bonna abasingisibwa omusango gw’okulya enguzi.
Mungeri yeemu President yatonzeewo n’akakiiko aketongodde akakulirwa omukyala Edith Nakalema, nga agamba nti kano keekagenda okwongera omuzinzi mu kulwanyisa nguzi.
Kati twogedeko ne banayuganda ab’enjawulo nebatutegeeza butya bwebadyagadde omuze guno gulwanyisibwemu.
Bano bagamba nti buli mukozi wa government akwatibwa agwana akangavulwe mu bukambwe, okusobola okubagolola etumba, songa nabamu bawagira ekyokuwamba ebintu byabwe.