Amawulire
Eby’okwerinda ku masinzizo
Poliisi esabye abakulembeze ba kkanisa okukaliga eby’okwerinda ku miryango gyaabwe okutangira abatujju abayinza okwefuula abasabi
Kino kivudde eri ssenkaggale wa poliisi gen Kale Kaihura amaze okulagira nti ebifo byonna eby’olukale omuli ne kkanisa zissibweemu eby’okwerinda ebikakali.
Kino abakulira poliisi ezitali zimu baatandise dda okukissa mu nkola nga mu bitundu bye Nateete, amasinzizo gonna galagiddwa okuwereeza abantu musanvu abagenda okukolagana nga ne poliisi okwaaza abantu
Akulira poliisi ye Nateete John Mwawule agamba waliwo n’amateeka agasindikiddwa eri eri bannanyini masinzizo gonna ku by’okwerinda
Gavumenti ya America yavaayo dda n’erabula Uganda ng’abatujju bwebatatudde nga bandirumba eggwanga mu ngeri yenyini gyebalumba Kenya