Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi e Kachorwa eriko abantu 5 bekutte nga bekuusa ku ttemu eryakoleddwa ku Chomos Micheal owemyaka 31.
Eno poliisi eri ku muyiggo gwomusajja Josua Kikuku agambibwa okutta omugenzi, ngabamutebereza okumwagalira omukazi.
Omugenzi yabadde mutuuze ku kyalo Tariyeti mu gombolola ye Koti district ye Kapchorwa, ngomulambo gwe gwasangiddwa mu district ye Kween, nga baamusse nebamwokya.
Omowgezi wa poliisi mu bitundu bye Sipi Rogers Taitika, akakasizza nti bakutte Nelson Pirot owemyaka 22, Cherop Bosco 51, Timothy Chebet 24, Toyeku Abdalaziz, ne Victor Cherimo, nga kisubirwa babadde mu kobaane lino
Agambye nti bano bagenda kuyambako mu kuyigga omuvunanwa omukulu, atenga nabo Bagenda kubatwala mu kooti bavunanibwe.