Ebyobulamu

Omuntu omu yeyakafa Kkolera-Gavumenti

Omuntu omu yeyakafa Kkolera-Gavumenti

Ivan Ssenabulya

January 10th, 2019

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Gavumenti etegezezza ngabantu abakakasibwa okubeera nekirwadde kya Cholera bwebaweze 7, okuva ku 2 ababade bamanyiddwa.

Minister omubeezi owebyobulamu Dr Moriku Kaducu agambye nti ekirwadde kyongedde okutaama, nga abatwaliddwa mu malwaliro okwekebejjebwa baweze 16.

Wabula ono agamba nti waliwo nabatandise okusuuka, nga 8 ku babade mu dwaliro e Naguru baasibuddwa.

Ono agambye nti omu yekka yekafa ekirwadde kya Cholera mu Kampala.

Mungeri yeemu kkyo ekitongole kya KCCA kitegezeza nga bwekigenda okuzimba kabuyonjo ezolukale 300 mu kibuga, okwongera okutumbula obuyonjo.

Bwabadde ayogerako ne banamwulire, oluvanyuma lwokulambula kwebabaddeko e Kaboowa, minister omubeezi owa Kampala Betty Namugwanya agambye nti obukadde bwa dollar 4 okuva mu Bill and Mellinda gates foundation, zezigenda okukozesebwa mu ntekateeka eno.