Amawulire

Ensimbi z’amasiro endala zisondeddwa

Ali Mivule

October 30th, 2013

No comments

Katikkiro Mayiga at Kasubi

Ensimbi obukadde 6 zeezisondedwa olunaku olwaleero mu masiro e Kasubi.

Ensimbi zino ziwereddwaayo abantu okuva mu kibuga kye Kalisizo, awamu n’abantu sekinoomu.

Ate ebintu ebikalu omuli sementi ebitiiyo, obuuma obukebera ebibalirirwamu obukadde 4 byebiwereddwaayo,

Ye Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu bas Ssabasajja awatali okusosola mu myaka, oba ddiini okwongera okuwaayo ensimbi.

Okuva olunaku lw’eggulo obukadde obusoba mu 70 bwebwakasondebwa okuva mubitundu bya kampala ne miriraano.

Katikkiro yasazeewo okukuba ensisiira mu masiro ge kasubi okusonda ensimbi ezinazzaawo amasiro gonna