Bya Damalie Mukhaye ne Ndaye Moses
Ekitongole kyebigezo mu gwanga Uganda examination boarda kitegezezza nga, bwewabaddewo okukola obulungi mu bigezo byakamalirizo ebyekymusanvu, ebyakolwa omwaka oguwedde 2018.
Bwabaddea fulumya ebyava mu bigezo bino wali ku wofiisi yomukulembeze we gwanga, Ssabawandiisi wekitongole kyebigezo Dan Odongo agambye nti ku bayizi emittwalo 65 mu 5,698 abatuula, abayizi emitwalo 59 mu 9,593 nga 91.4% bayise.
Abayizi emitwalo 5 mu 6,398 nga 8.6% baagudde nenkoona nenywa, eranga baakuddamu.
Kati ku bayizi abayise emitwalo 7 mu 7,133 bayitidde mu daala erisooka, emitwalo 27 mu ddala lyakubiri, emitwalo 14 mu ddala eryokusattu songa emitwalo 10 mu 7,398 nebamalira mu ddala eryokuna.
Odongo agambye nti okuyita kwabayizi bakubaliira mu madaala 1, 2, 3 ne 4.
Kati era agambye nti abayizi abagudde bakendedde bwogerageranya ne banaabwe aba 2017.
Eri abagala okumanya abaana baabwe bwebakoze, kitegezeddwa nti osobola okuyita ku ssimu nogenda wowandikira message nosaamu PLE akabanga ne INDEX NUMBER yomuyizi mu bujjuvu nosindika ku 6600.
Ate ekitongole kyebigezo kiriko ebigezo byabayizi 3,500 byebakutte olwokwenyigira mu kukoppa.
Ssbawandiisi wa UNEB Dan Odongo agambye nti ebikolwa ebyokukoppa byalimu naddala abasomesa nabakuuma ebigezi okuyamba abayizi.
Ebigezo ebikwatiddwa kuliko ebya Bundimulinga, Bubanda, Bundikahungu, Clever Origin P/S ngagambye nti abamu babawandikiranga nebyokuddamu ku mbaawo.
Ategezeza ngamasomero mu district ye Bundibugyo bwegasasula abakuuma ebigezo, buli omu emitwalo 5 okuyamba abayizi baabwe.
Wabula agambye nti bonna abakyakwatiddwa ebigezo byabwe, bakulurwa mu bwenkanya.
Yye ssentebbe wa UNEB Prof. Mary Okwakol alaze okutya ku bikolwa nga bino ebyokukoppa.
Agambye nti waliwo obwetaavu okuvaayo namakubo aganayinza okuyitamu okulwanyisa okubba ebigezo.
Mu birala Olungereza abayizi lwebasinze okukola obulungi nekuddako Social studies ku 95.5%.
Okubala kwakutte kyakusattu, cesince nasembayo.
Abalenzi bebasinze okukola obulungi okukira abwala.
Ku bayizi abatuula omutwalo 1 mu 3,072 babadde bava mu masomero gabwnanayini atenga absinga obungi emitwalo 47 mu 6,131 ga gavumenti.