Ebyobulamu

Okutulugunya omwana kikosa obwongo

Ali Mivule

November 5th, 2013

No comments

traumatized child

Okutulugunya omwana nga muto Kireka enkovu ku bwongo bwe.

Eno y’ensonga lwaki abatulugunyiziddwa bafuna ebizibu ne bewunika ate abalala bakola ebikolwa ebibi ennyo olw’embeera eno.

Okunonyereza okwakoleddwa ku bavubuka kwazudde akakwate wakati w’omwana engeri gy’akuzibwaamu n’ekyo ky’afuuka mu bulamu ng’akuze.

Kino kiyitirira ssinga omwana ono aba atulugunyiziddwa ekisusse nga bangi bwebakola bakola ebintu ebyewunyisa omuli n’okutemula abantu

Abasawo babuulira abazadde bulijjo okukuza abaana mu mbeera ennungi n’obutabakambuwalira kisukkiridde.