Ebyobulamu
Enkuba y’akweyongera n’okujjiramu ebirwadde
Bya Damalie Mukhaye ne Ndaye Moses
Abakugu mu mbeera yobudde balabudde nti, omusujja gwensiri gugenda kweyongera, wakati mu namutikwa wenkuba atandise okufudemba.
Bino webijidde ngekitongile kyentebereza yobudde, Uganda National Metrological Authority kyalagudde enkuba okuviira ddala mu March okutuuka mu May.
Akulira ekitongole kino Festus Luboyera, agambye nti kitegeeza ensiri ezivaako omusukka zakwalula, nebirwadde ebiralala.
Kati asabye ministry yebyoulamu okwongeramu amaanyi, okumanyisa abantu kungeri yokwetangiramu ebirwadde ebimu.
Mungeri yeemu gavumenti esabiddwa okuvaayo nankola ezinayamba, okwongera okumanyisa abantu ku birwadde ebitasigibwa butereevu okuva ku untu okudda ku mulalala, ebigenda byeyongera.
Okusinziira ku Dr. Andrew Kimera okuva mu kitongole kya international medical group, ebibalo bya ministry yebyobulamu biraga nti banna-Uganda emitwalo 10 bebafa ebirwadde bino byenjawulo, nga bakola 35% ku bantu abafa awamu mu gwanga.
Kati agamba nti okumanyisa abantu kwetaaga okwongeramu amaanyi.