Bya Barbra Nalweyiso
Akulira ekisinde kya People Power, omubaka wa Kyandondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, asabye Dr kiiza Besigye, nabakulembeze abalala ku ludda aoluvuganya gavumenti, begattire wamau okusindikiriza gavumenti ya presidenti Museven.
Omubaka Kyagulanyi asinzidde ku mukolo, ogwokwebaza Katonda ogwategekeddwa omubaka wa munisipaali ye Mityana, Francis Zaake Butebi ogubadde mu maka ge.
Azeemu navumirira, ebigambibwa nti abawagizi beksinde kye baliko olutalo lwebaggula ku Dr Besigye, nga negyebuvuddeko baali bagala kumugajambula walai e Mengo.
Wano alaze obukulu bwokwegatta, ssinga aolutalo lwebalaimu lwakuvaamu ebibala.
Ate yye omubaka Zaake Butebi wano ayambalidde gavumenti, nti ekomye okunyigiriza abenganda ze.
Kino agamba nti bakikola nekigendererwa okumuyimiriza, ave ku byobufuzi wabulanga agambye nti ebyobufuzi abirimu ng’omuntu, abanatu be babalanga bwemage.
Yye bwanamukulu wa ssaza lya Kiyinda asabye gavumenti, okuteeka amaanyi ku buli munna-Uganda eyajironda, okukyusa embeera zabantu, mu kifo kyokussa eryanyi erisukiride ku banabyabufuzi.
Faaza Steven Lusiba abade ayimba mmisa ku mukolo gwegumu.