Bya Ritah Kemigisa
Abakazi abanoonyi bobubudamu wano mu gwanga basabye nti watendebwewo, ekitongole kya poliisi ekyenjawulo okulwanyisa ebikolwa byobutabanguko mu maka omuli nokukaka omukwano, mu nkambi ezababunda bunda.
Gloria Mbirinde nga munansi wa Congo agamba nti abadde mu Uganda, kati okunmala emyaka 12, nayenga ebikolwa abyokukaka omukwano bingi nnyo mu nkambi, wabulanga nebwebaloopa eri abobuyinzanga poliisi tebabwuliriza.
Ategezezza nti absinga kyebava basirika waddenga batulugunyizibwa.
Kinajjukirwa nti alipoota ekyesembyeyo okufuluma, ewata aku bwenkanya yalaga nti emponzi, abasinga tebalamulwa bulungi olwobutamanya nnimi, zaabwe.
Mungeri yeemu abantu ba wano basabiddwa okwongera okwagala nokwaniriza ababundabunda.
Edna Kasozi munamateeka okuva amu kitongole kya Inter Aid Uganda, agambye nti ddala abantu bano basanga aokusomozebwa okwamanyi, nga betaga okubibwako.