Ebyobulamu
Obujanjabi bwa Nalubiri buzze e Mukono
Bya Ivan Ssenabulya
Obwakabaka bwa Buganda, ministry yebyobulamu nobukulembeze bwa munisipaali ye Mukono bategese okukebera ekirwadde kya sickle cell okwobwerere, wakati mu kwetegekera amazalibwa ga Kabaka agomwaka guno.
Omukwanaganya wentekateeka eno Evelyn Mwesigwa era atugambye nti, bagenda kugulawo waadi, ejanjaba ekirwadde kino ku Mukono Health Center IV.