Bya Benjamin Jumbe
Amagye ge gwanga aga UPDF wansi wa AMISOM galiko abakambwe aba Al-shabab 22 bebasse, nga mu lutalo lwerumu mufiriddemu naba UPDF 4.
Bino bibaddewo mu bulumbaganyi ku nkambi ye Quoroyole, nemu Golwen mu ssaza lye Lower Shabelle mu gwanga lya Somalia, olunnaku lwe ggulo.
Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumye emmotoka 8 ezaba alshabab ezibaddeko ebyokulwanyisa zononeddwa.
Ebyokulwanyisa ebiralala okuli emmundu vikwatiddwa.
Abajaasi ba UPDF 6 abalala babuuse nebisago ebyamanyi.
Ate amwulire amalala gavaayo galaga nga omujamabula wa Al-Shabaab, owoku ntikko bwawanise nasala eddiiro okudda mu gavumenti.
Mohamed Ibrahim Bitow omu ku babadde badumira abakambwe, mu kitundu kye Loware Shabel yawanise.
Aba Al-Shabaab babadde tebanavaay okubaako kyebanukula ku kukyuka kwono.