Amawulire
Okubba piki- asibiddwa emyaka 18
Kooti enkulu eriko omusajja owe myaka 30 gw’ekalize emyaka 18, nga ono emulanga kubba bodaboda.
Godwin Kanyaanya owe Namuwongo alabiseeko mu maaso g’omulamuzi Elizabeth Alividza ,akakasizza nti yabba piki ya Simon Kalaharo.
Omusango guno kigambibwa ni yaguzza ng’ennaku z’omwezi 15 , omwezi gw’okubiri mu mwak aoguwedde nga piki eno nno yagikukunula mu kifo weyali esimbiddwa e Kabalagala
Wano omulamuzi w’asinzidde n’agamba nti obunyazi bwa pikipki buyitiridde ensangi zino , kale nga ono yeetaga afuuke eky’okulabirako.