Amawulire
Abasomesa basitudde buto
Abasomesa okwetwoloola eggwanga lyonna nate bategeezeza nga bwebagenda okuddamu okuteeka wansi ebikola, singa gavumenti tebanguyize musaala gwaabwe.
Ssabawandiisi w’ekibiina ekibagatta James Tweheyo agambye nti gavumenti kirabika nga ebazanyira ku bwongo , anti nabuli kati ekyagaanyi okutuukiriza byebakiriziganyaako nga bakomya akeediimo kaabwe.
Ono agamba nti baali bakkiriziganya nti abasomesa baweebwe omusaala gwaabwe mu nnaku 28 zokka, wabula nakati mpaaawo kavaayo, kale nga singa olw’okusatu lwa ssabiiti egya lutuuka nga tebanabasasula, tebagenda kwebuuza ku muntu yenna nga beekalakaasa.
Abasomesa ku luno baali bayimirizza okwekalakaasa nga bagamba nti batuuse ku kukkaanya ne gavumenti