Amawulire

Omukulembeze w’eggwanga lya South Africa alayiziddwa

Omukulembeze w’eggwanga lya South Africa alayiziddwa

Ivan Ssenabulya

May 25th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye

Omukulembeze w’eggwanga  lya south Africa omugya Cyril Ramaphosa alayizidwa mu butongole.

Omukolo gubadde mu kisaakwe ky’eggwanga ekikulu mu kibuga Pretoria.

Ramaphosa alayizidwa ssabalamuzi wa south Africa magoeng.

Ono yasuubiziza okutondawo emirimu era ne yeyama okukola okusinzira kuki bannansi kye bagala.

Omukolo guno gwetabidwako abakulembeze okuva mu mawanga ga Africa ag’enjawulo nga n’omukulembeze w’eggwanga Uganda Yoweri Kaguta Museveni talutumidwa mwana ne munywanyiwe ow’e Rwanda Paul Kagame abadeyo.

Ramaphosa walayiridde nga gweyadidde mu bigere Jacob zuma awerennemba n’emisango gy’obukenuzi.