Skip to content Skip to footer

Gavumenti ewadde amagezi abasabalira ku nyanja

Bya Damali Mukhaye

Minisita omubeezi ow’e by’entambula Aggrey Bugiire agamba nti akabenje k’e Lyato ku Nyanja Albert akawusse abantu 16 gavument yabadde terina bweyinza kukaziyiza

Ono agamba nti gavumenti terina ngeri yonna mwesobolera okuziyiza omuyaga gw’okunyanja era bwatyo naawa amagezi abasabalira ku mazzi okusooka nga okusoma embeera nga tebanatandika ku lugendo.

Wabula minisita alaze obwetaavu obw’okwongera ku muwendo gwa basirikale b’oku mazzi kuba enyanja Nalubaale eriko emyalo mingi

Abantu 16 abafiira mu kabenje kano baali bamu ku tiimu ya bazanyi b’omupiira 30 abaali bava ku mwalo gwe Foto mu district ye Hoima.

 

Leave a comment

0.0/5