Bya Ivan Ssenabulya
Enteekateeka ez’okujaguza abajjulizi bauganda ku kiggwa kya bakristaayo e Nakiyanja ziwedde
Nga ayogera ne bannamawulire sentebe w’akakiiko akategesi omulabirizi w’emityana Samuel Kazimba Mugalu ategezeeza nga ssabalabirizi w’ekanisa ye Kenya Ore Sabiiti yasuubirwa okubeera omugenyi omukulu.
Era ng’emikolo gy’okujaguza gya kutandika ne bikujuko by’abaana lwenkya, kudeko eby’abakyala n’abavubuka.
Wategekedwawo n’ensisira z’ebyobulamu e Buwama mu Mpigi, Mukono, Mityana ne Namugongo.
Amassaza 5 gegategese emikolo gy’omulundi guno nga kuliko Mityana, Luweero, Mukono central ne West Buganda.
Emikolo egy’okujaguza Abajulizi ba Uganda gibeerawo buli nga 3 june era egy’omulundi guno gya kutambulira wansi w’omulamwa ogugamba nti abakristaayo balina okuba abavumu bayimirirewo kulwa katonda waabwe.