Skip to content Skip to footer

Poliisi esazizaamu olukungaana lwa DP

Bya Abubaker Kirunda

Poliisi esazizaamu olukungaala lwekibiina kya DP olwokutabagana olubadde lutegekeddwa okubaawo e Jinja olwaleero.

Olukungaana luno lubadde lugenda kubeera mu kisaaw ekya Jinja Rugby ground wabula obudde bugenze okusasaana, ngekifo poliisi ekyebuunguludde.

Essaawa zigenze okuwera 1 ku maliiri nga ssenkaggale wekibiina Norbert Mao atuuse wabula omuddumizi wa poliisi e Jinja, Vincent Irama namulagira agende.

Abalala ababadde bakedde kubaddeko Sulaiman Kidandala ne Samuel Walter Lubega wabla bonna tebabaganyizza, kuyingira mu kifo.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Kiira Diana Nandaula, agambye nti abategesi babadde tebafunye lukusa.

Leave a comment

0.0/5