Skip to content Skip to footer

Poliisi etaddewo obukadde 100 ku basse Omugenzi Suzan

Bya Sam Ssebuliba

Poliliisi etaddewo ekirabo kya bukadde 100 eri anawaayo amawulire, ku batemu abajje omukazi Susan Magara mu bulamu.

Omugenzi Susan Magara eyali yabuzibwawo, omulambo gwe gwasangiddwa amakya ga leero ku luguudo lwa Southern Bypass.

Bwabadde ayogerera mu lukungaana lwabanamawulire, Abas Byakagaba akuliddemu ekikwekweto kyokuyigga abatemu, ategezeza nti poliisi yafunye akatambi akalimu amaloboozi, akayinza okuba nga abazigu bazooka kukuba masimu.

Omugenzi Magara abadde atemera mu myaka 28, kigambibwa nti abadde addukanya business ya kitaawe, John Magara.

Poliisi etereddeko banamwulire edddoboozi ku lukomo lwe ssimu, nebigambo ebyakwatibwa wakati mu kulukira omugenzi olukwe.

Leave a comment

0.0/5