Amawulire
Abakafa Ebola baweze 2
Bya Jeol Kaguta ne Ivan Ssenabulya
Omulwadde wa Ebola omulala ku nkambi ye Bwera mu district ye Kasese, amaze nafa.
Omugenzi ye jajja w’omwana owemyaka 5 eyasoose okufa olunnaku lwe ggulo.
Omukadde ono yeyali mukyala womusajja, munansi wa DRC eyafa wiiki 2 emabage amu kitundu kye Beni.
Ono naye yasala ne muwala we ne muzzukulu we, okuyingira Uganda wamu nabe nganda abalala, muwala waabwe eyali yafumbirwa kuno.
Kati akulia ebyobulamu mu district ye Kases Dr. Yusuf Baseke akakasizza okufa kwomukadde ono.
Ono bagenda kumuziika mu kifo kyekimu webaziise muzzukulu we, e Rusese.
Kati omugatte abantu bebakafa, okuva Ebola lweyakakasiddwa mu Uganda.
Ate abantu 5 banansi ba Congo abalina Ebola nabateberezebwa okubeera naye bagenda kuzibwayo ebwaabwe.
Kino kitukiddwako mu lukiiko olubadde e Bwera mu district ye Kasese nga lwetabiddwamu nabaukungu abebyobulamu okuva mu DRC.
Minister webyobulamu Jane Ruth Acenge agambye nti kino bagenda kukikola mu mutima mulungi, era mu mirembe awatali kukka, kubanga bano ewaabwe gyebayinza okuwlirira emirembe okubajanjaba, atenga ne gwanga lino lisingako Uganda mu byokujnjaba ekirwadde kino.
Minister era agambye nti bakyagenda mu maaso okulondoola, abantu bano gyebayitako okuzuula obanga waliwo abalala abalwadde.
Mu biralala ebitukiddwako bakanyizza okwongera obukuumi ku nsalo, naddala mu bitundu abantu abamu gyebasalinkiriza.