Ebyobulamu

Okugema abasawo kwa leero e Kasese

Okugema abasawo kwa leero e Kasese

Ivan Ssenabulya

June 14th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Ministry yebyobulamu olwaleero egenda kutandika ku ntekateeka yokugema, abasawo abajanjaba nokulwanyisa ekirwadde kya Ebola mu district ye Kasese.

Minister wbyobulamu Jane Ruth Achieng yagambye nti kino, kigenda kuyamba okwetangira kirwadde kya Ebola, okusasaana.

Wetwogerera ngabantu 2 bebakafa, waasigaddewo 1 ku bantu 3 abakakasibwa okubera nekirwadde, songa abantu abasoba mu 10 bebakibwa mu nkambi ye Bwera.

Okugema kuno kuwomeddwamu omutwe ministry oyebyobulamunekitongole kya World Health Organization and n’ebitongole ebiralala bwebakwatagana.