Skip to content Skip to footer

Bebatulugunyako balajanira bwenkanya

Bya Ritah Kemigisa ne Prossy Kisakye

Olwaleero Uganda yegasse ku nsi yonna okukuza aolunnaku olwabangibwawo ekibiina kyamawanga amagatte, okulwanyisa ebikolwa ebyokutulugunya abantu.

Olunnaku luno lujugidde ku mubala “Torture is Real, Speak Out, Take Action”, nomulanag eri buli muntu nti ebikolwa bino ddala gyebiri.

Kati ssentebbe owekibiina ekyabaali batulugunyizdwako Fred Baguma, agambye nti kimalamu amaanyi okulaba ngebitongole ebirina okukwasisa etteka ate bebamu abatulugunya aantu.

Yye akulira ekitongole kya African center for treatment and rehabilitation of torture victims, ekibudabuda abatyulugunyiziddwa Herbert Nsubuga akubye omulanga nti, abantu banagi abatulugunyizddw anayenga tebafunye bwenkanya.

Mungeri yeemu Lord Mayor wa Kampala Elias Lukwago agambye nti netntekateeka, eri gavumenti okutangira ebikolwa byokutulugunya abantu zibulamu.

Kko akakiiko akalera eddembe ly’obuntu aka Uganda Human Rights Commission gyebuvuddeko kabanja, obuwumbi 5 ezirina okuliyirira abantu abatulugunyizbwako.

Emikolo emitongole gigenda kukwatibwa ku Hotel Africana mu Kampala.

Leave a comment

0.0/5