Bya Gertrude Mutyaba
Akulira ekitongole ky’abalamuzi abakyala mu gwanga, wansi wa National Association of Women Judges, omulamuzi wa kooti enkulu Henrietta Wolayo asabye abatuuze mu bendo-bendo lye Masaka okwegatta mu lutalo olwokukomya omuze gw’okutulugunya abakyala n’abaana.
Asinzidde mu lukungaana olwawamu, kyebatuum, open court olutudde e Masaka nakubira abantu omulanga, bafeeyo okukuuma abakyala nabaana.
Yye omulamuzi wa kooti enkulu e Jinja Eva Luswata asabye gavumenti okukuuma eddebe ly’obuntu, kitebwe kwebyo ebisomesebwa mu masomero.
Wabula mu lukungaana luno, abatuuze baloopedde abakulu, engeri abalamuzi mu kooti eza wansi gyebabafutyankamu, n’emisango gyabwe nejifa.