Amawulire

Omusumba Jjumba atuziddwa

Omusumba Jjumba atuziddwa

Ivan Ssenabulya

July 6th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye ne Gertrude Mutyaba, Omusumba omulonde omuggya owessaza lye Masaka Severos Jjumba atikiddwa ku ntebe ey’obusumba bw’essaza lino.

Emikolo gikoleddwa ku kisaawe kya Sports Arena e Kitovu Masaka.

Emikolo gikulembedwamu omusumba eyawumula emirimu gye John Baptist Kaggwa gwa ddide mu bigere.

Mu kutuuza omusumba jjumba, omusumba Kaggwa amukuutidde okuwereza mu buwombeefu, era omwesigwa nokubeera omutabaganya.

Mungeri yemu amusabye okwagala abawereza bagenda okukola nabo, abanaku, abalwadde nababundabunda.

Era akubiriza abakristu okukola awamu n’omusumba ono nga bamuwa obuwagizi mu byonna byagenda okukola.

Omukolo gwetabidwako omumyuka womuk. Weggwanga Edward kiwanuka sekandi akikiridde omuk. Weggwanga, katikkiro wa Buganda Charles peter mayiga, bannadiini okuva munzikkiriza ez’enjawulo, ababaka ba palament abakkiriza n’abalala bangi.

Katikkiro Mayiga ayozayozeza omusumba omugya Jjumna namugumya nti katonda aliwamu naye okutukiriza byonna ebikwata ku buwereza obumwolekedde.

Ate ye omukulembeze weggwanga Yoweri Museveni akikiriddwa omumyukawe Edward Kiwanuka Sekandi amutonedde e kirabp kya motoka kapyata okusiima ekelezia olwenkulakulana gyeleese mu ggwanda okuyita mu kuzimba amassomero n’amalwaliro.