Bya Ivan Ssenabulya
Ssenkaggale wa DP Nobert Mao asabye omukubiriza wa palamenti, okutekawo embeera eyokuteesa nokukaanya, ku byokwongeza ekisanja kyakakiiko ka COSASE.
Kino kyadirira Rebecca Kadaga akakiiko kano okukongera obudde bamalirize okunonyereza kwebaliko ku banka enkulu, aboludda oluvuganya gavumenti kyebawakanya.
Kati bwabadde ayogera ne banamwulire Mao agambye nti okusalawo kwa spipiika kumenya mateeka ga palamenti, kalenga ekirna okukolebwa kwekukaanya wakati wakaulira oludda oluvuganya gavumenti, nampala woludda oluvuganya mu palamenti ne presidenti wa FDC ku nsonga eno.
Ono agambye ni kino ssi kyabwenkanya kubanga sipiika yoomu, yawagira enkyukakyuka ezakolebwa aba NRM bwebasuula ba ssentebbe bobukiiko bonna abatawagira okujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga.