Bya Gertrude Mutyaba
Abantu babiri battiddwa mu bukambwe ku kyalo Mabaale mu gombolola ye Kabira mu district ye Kyotera mu kiro ekikeesezza olwaleero.
Abagenzi kuliko Ibrahim Kakooza owemyaka 65 ne Robert Nyabenda nga kigambibwa nti ono yabadde akyalidde mukwano gwe Kakooza wabula abatemu nebabayingirira.
Wabula abamu balumiriza nti mukyala wa Kakooza yekobaanye n’abatemu batte bba asobole okwezza ensawo z’emmwanyi 15 zebakungula gyebuvuddeko.
Kati poliisi ekutte omukyala ono n’omusajja omulala asangiddwa okumpi n’amaka g’omugenzi nga yekukumye mu kibira atenga talina bimwogerako.