Abasomesa baweze nti okujjako nga basasuddwa omusaala gwaabwe, kikafuuwe okulinnya ekigere mu kibiina.
Sabawandisi w’ekibiina ekibagatta ekya , Uganda national teachers union, James Tweheyo , agamba tebakyalina nsimbi zebakozesa oluvanyuma lw’obutasasulwa omusaala gwaabwe kati myezi esatu.
Tweheyo agamba abasomesa abasinga tebakyalina nsimbi zakukoseza mu by’entambula okugenda ku masomero.
Agamba abasinze okukosebwa be basomesa ba pulayimale ne secondary mu district ye Buvuma ne Moroto.
Ministry y’ebyenjigiriza egamba nti omusala guluddeyo kubanga bagezako kwekenenya nkalala abasomesa bano kwebasasulirwa omusaala okujjamu ab’empewo.