Bya Abubakar Kirunda
Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Namusisi mu gombomola ye Nabitende-Kalungami, mu district ye Iganga emiramabo gyabaana 2 bwejisanagiddwa, ku kidiba mu kirombe kyomusenyu.
Ssentebbe we kyalo kino Henry Muwanika agambye nti abaana bano bagaudde mu kinya, bwebabadde banoonya ba maama waabwe, abadde yagenze mu nnimiro.
Abaana bano nga bawere, kuliko Steven Kaswabuli ne Kusasira Muwanguzi nga bombi batabani ba Robert Waiswa.
Kati poliisi enyuluddeyo emiramabo gino nejitwalibwa mu gwanika lye ddwaliro e Nakavule, okwekebejjebwa.