Skip to content Skip to footer

Ebya tekinoloje ly’ekubo ely’okugagawaza uganda.

Bya Samuel Ssebuliba.

Minister akola kubya science, ne technology Dr Elioda Tumwesigye ategeezeza nga bwekyetagisa okwongera okusigga ensimbi mubya science, Uganda bweba yakutukiriza ebigendererwa ebyekyasa wegunakoonera omwaka 2020.

Ono agamba nti ministry gyakulira  esazeewo okuteeka omulaka ku by’okukuza science n’obuyiiya mubanayuganda , era nga wano egenda kusaawo amaanyi agatagambika n’ensimbi.

Ono agamba nti enkulakulana y’egwanga egenda kusinziira kukufaayo okutekeddwa kubya science sosi ku nsimbi zino zetumala gasiga.

Leave a comment

0.0/5