Bya Malik Fahad.
Polisi ye Kalisizo eriko omusajja gwekutte was 34, nga eno emulanze kugezaako kuba mundu kumusirikaale nga alikumulimu.
Akwatiddwa ye George William Ssegawa omutuuze we Matale mukabuga ke Kalisizo e kyotera, nga ono emundu abade agezaako kuginyakula ku John Watira gwatisizatisizza n’akambe.
Ssegawa abadde agezaako okudduka kyoka esimu gyalese e mabega yemuloopye okukakana nga akwatiddwa.
Ayogerera polisi yeeno Lameck Kigozi, akakasizza okukwatibwa kwa Ssegawa’ nategezza nga okunonyerezza kunsonga eno bwekwatandiise.
