
Ssentebe wa disitulikiti ye Luweero Abdul Nadduli ajereze aba abamusojja kuluwonzi nti talina mpapula zabuyigirize.
Nadduli gwetusanze ku kitebe kya NRM ng’azzaayo empappula z’okwesimbawo ku bwa Ssentebe bwa district ye Luweero, Nagambye nti abo ababungeesa engambo nti talina mpapula zabuyigirize bagaala kubuzabuza balonzi mu disitulikiti ye Luweero.
Nadduli agambye nti ne mu 2011 yakonjerwa obutaba n’ampapula naye oluvanyuma ekibiina kya NRM nekikakasa obuyigirize bwe.
Kinajjukirwa nti Naduli yoomu ku banabyabufuzi abaanokolwayo akakiiko k’abakugu mu kibiina kya NRM akateekebwawo okwetegereza obuyigirize bwabesimbyewo.