
Kondakita wa taxi aludde ng’anyaga abatuuze abakozesa oluguudo lwe Kamwokya Ntinda akwatiddwa era n’asimbibwa mu mbuga z’amateeka.
Peter Namawa avunaaniddwa mu kkooti y’omulamuzi Moses Nabende ku City Hall kyokka ng’omusango agwegaanye.
Kigambibwa nti Namawa abadde ajja akwata mu nsawo z’abasaabaze naddala abatuula mu maaso
Asoose okumuwaako obujulizi abadde mukyala Esther Nakyonyi ategeezezza nti yabadde atudde mu maaso ne dereeva omusajja ono n’amusaba okutereeza oluggi olwo n’amunyaga.
Nakyonyi ategeezezza omulamuzi nti kino yakitegeera bwe yali ayagala okusasula nga talaba ku nsimbi kyokka kondakita n’atamuyombesa n’amusaba azireke
Omulamuzi amusindise e Luzira agira abeerayo okutuuka enkya omusango lwegunaddamu okuwulirwa.