Bya Sadat Mbogo.
Police e Ssembabule enonyereza kunfa y’omusajja wa myaka nga 40 ng’ono kigambibwa nti yaseeredde nga anaabako n’agwa mu mugga Katonga ogwawula district ey’e Ssembabule ne Gomba.
Omugenzi ategerekese nga Rashid Mwanje nga ono yabadde agenze ne banne okusima omusenyu, kyoka bweyamaze nayagala okunaabako okukakana nga agudde mu mazzi gano n’afiramu.
Police nga eduumirwa Julius Ahimbisibwe okuva e Ssembabule ezze omulambo negunnyulula negutwala mu ggwanika ly’eddwaliro ekkulu e Masaka okwongera okwekebejjebwa.