Amawulire

Buganda egenda kweterekera eddagala

Buganda egenda kweterekera eddagala

Ivan Ssenabulya

July 16th, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Obwakabaka bwa Buganda bugenda kutandiikawo ekitongole kye ddagala ekya Buganda medical stores.

Muno kitegezeddwa nti mwemunaakuumirwanga eddagala erikozesebwa mu kujjanjaba abantu ba ssabaasajja.

Mu mbalirira yobwakabaka eyomwaka ‘gwebyensimbi 2019\20 ebyobulamu byaweredwa obuwumbi 3 nobukadde 557 n’omusobyo okukola ku ntekateeka ezenjawulo.

Omumyuka wa Katikkiro oqkubiri, nga ye muwanika wa Buganda Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, ategezezza ngnkola eno bwegenderedwamu okutuusa obujjanjabi ku bantu ba Kabaka okuyita mu kuteekateeka ensiisira zebyobulamu, okwongera amaanyi mu kubunyisa enjiri y’okwetangira ekirwadde kya hepatitis B, mukenenya ne ntekateeka endala.

Mungeri yeemu bakugezesa, enkola ya tubeere balamu nga batandiika nabakulembeze mu bwakabaka ku mitendera egitali gimu.