Skip to content Skip to footer

Okuwandiisa aba LDU kugenda mu maaso

Bya Benjamin Jumbe ne Prosy Kisakye

Okuwandiisa abegenda okuyingira mu gye ekuuma byalo erya LDU, kwakugenda mu maaso olwaleero nga kuyingidde olunnaku olwokubiri.

Kuno kwekuwandiisa okwomwetoloolo ogwokubiri, ngolwaleero kuli mu district ye Kotido, Kitgum, Amuru, Kyotera, Rakai neku Old Kampala.

Omwogezi wamagye ge gwanga aga UPDF Brig Richard Karemire agambye nti olunnaku lwe ggulo okuwandiisa kwebabadde nakwo, kwajjumbiddwa.

Olunnaku lwe ggulo okuwandiisa kwabadde Gulu mu kisaawe kye Pekye, ku bitebbe bya district e Lyantonde, Kaabong, Lamwo ne Wankulukuku mu divison ye Lubaga mu Kampala.

Ate omumyuka womubaka wa gavumenti mu division ye Lubaga Daniel Kabunga alabudde ba ssentebbe be byalo, abasemba aokuwandiisa, abavubiuka aokuyingira amubwa LDU, atenga ssi batuuze mu bitundu ebyo.

Kino kyadiridde abamu ku bagala okuyingira egye ekuuma byalo ate okulemererwa okunyonyola ebitundu byebavaamu.

Bwabadde ayogerako eri abatuuze mu kisaawe e Wankulukuku ababadde bazze okwewandiisa, Kabunga agambye nti ba ssentebbe be byalo tebatekeddwa kulagajjalira mulimu gwabwe, era nalabula nti gwebanazuula ngamala gasemba nebatamanyi waaku binyonyola.

Omwogezi wekibinja kyamagye ga UPDF ekisooka Maj. Bilal Katamba agambye nti betaaga aba LDU 1500 mu Lubaga mwokka.

Leave a comment

0.0/5